Hosea 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mujjuddemu kuvumirira, bulimba na butemu, bubbi na bwamalaaya, n'okuyiwa omusaayi okw'omudiriŋŋanwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta, n’okubba, n’okukola eby’obwenzi; bawaguza, era bayiwa omusaayi obutakoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiriwo kwe kulayira, okulimba, okutta, okubba n'okwenda; bamenya buli ebibasiba, era obutemu buddirira obutemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiriwo kwe kukolima, okulimba, okutemula, okubba n'okwenda. Okuzza emisango kweyongera bweyongezi era obutemu buddirira butemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali kintu wabula okulayira n'okumenya endagaano n'okutta n'okubba n'okwenda; bawaguza, n'omusaayi gukoma ku musaayi.