Hosea 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Osirittuka emisana ttuku, n'abalanzi balisirittuka naawe ekiro, ne nnyoko nzija kumuzikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakola ebibi emisana n’ekiro, ne bannabbi ne babikolera wamu naawe; kyendiva nzikiriza maama wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olyesitala emisana, era nnabbi alyesittalira wamu naawe ekiro, era ndizikiriza nnyoko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukola ensobi emisana n'ekiro, n'abalanzi nabo kye bakola nga mmwe. Nja kuzikiriza Yisirayeli nnyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olyesittala emisana, era ne nnabbi alyesittalira wamu naawe ekiro; era ndizikiriza nnyoko.