Hosea 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bange bazikirira kubanga tebamanyi; kubanga weesammula okumanya, nange nzija kubeemansula nga bakabona bange; kubanga weerabidde etteeka lya Katonda wo, nange nzija kwerabira abaana bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya. “Kyemunaava mulema okubeera bakabona bange; era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo, nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya; kubanga ogaanyi okumanya, nange ndikugaana ggwe, oleme okubeera kabona wange, kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bange bazikirizibwa, olw'obutamanya. Mmwe bakabona nga bwe mugaanye okummanya, nange ndibagaana okuba bakabona bange. Era nga bwe mwerabidde amateeka gange, nze Katonda wammwe, nange ndyerabira abaana bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya: kubanga ogaanyi okumanya nange ndikugaana ggwe, olemenga okubeera kabona gye ndi: kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo.