Hosea 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gye bakomya okweyongera, gye bakomya okusobya gye ndi; ekitiibwa kyabwe nzija kukifuula ensonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gye beeyongera okuba abangi, gye baakoma n’okukola ebibi; baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bakabona gye bakoma okweyongera obungi, gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange; ndikyusa ekitiibwa kyabwe ne nkifuula ensonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bakabona gye bakoma okweyongera obungi, gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange. Ekitiibwa kyabwe ndikifuula ensonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe baayala, bwe batyo bwe bannyonoona: ndiwaanyisa ekitiibwa kyabwe okuba ensonyi.