Hosea 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona nga bwe baliba, n'abantu bwe baliba; nzija kubabonereza olw'amakubo gaabwe, mbawe ekigya mu bikolwa byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona: ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe, era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'abantu bwe bali, ne bakabona bwe batyo bwe bali: era ndibabonereza olw'empisa zaabwe, era ndibasasula olw'ebikolwa byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'abantu bwe bali, ne bakabona bwe baliba. Ndibabonereza olw'empisa zaabwe, mbasasuze olw'ebikolwa byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ng'abantu bwe bali ne kabona bw'atyo: era ndibabonereza olw'amakubo gaabwe, era ndibasasula ebikolwa byabwe.