Hosea 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bakabona, muwulire kino! Mmwe ennyumba ya Yisirayeli, mutegereze! Nammwe ennyumba ya Kabaka, muwulirize! Kino nkivunaana mmwe: E Mizupa mwafuuka kitimba, n'olutuula olwanjuluziddwa ku Tabori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwulire kino mmwe bakabona! Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri! Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka! Omusango guli ku mmwe: Mubadde kyambika e Mizupa, era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire kino, mmwe bakabona! era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka! musaliddwa omusango okubasinga mmwe; kubanga mwafuuka ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa n'ekitegebwa ku Taboli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muwulire kino mmwe bakabona, muwulirize mmwe Abayisirayeli. Mutege amatu mmwe ab'ennyumba ya kabaka. Musaliddwa omusango okubasinga mmwe, kubanga mwafuuka omutego e Mizupa, n'ekitimba ekyategebwa ku Lusozi Tabori,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire kino, mmwe bakabona, era muwulirize, mmwe ennyumba ya Isiraeri, era mutege amatu, mmwe ennyumba ya kabaka, kubanga omusango guno gwammwe; kubanga mwabanga ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa ku Taboli.