Hosea 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Efurayimu bwe yalaba obulwadde bwe, ne Yuda ebbwa lye, Efurayimu n'addukira e Assuri, n'atumira kabaka omukulu; naye nno n'oyo talisobola kubawonya, talisobola kubaggyako bbwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe, ne Yuda n’alaba ekivundu kye, Efulayimu n’addukira mu Bwasuli, n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu. Naye tasobola kubawonya newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka omukulu, kyokka tayinza kubawonya, wadde okuvumula ekiwundu kyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yisirayeli bwe yalaba ng'alwadde, ne Buyudaaya bwe yalaba ebiwundu bye, Yisirayeli n'alaga mu Assiriya okusaba kabaka waayo amuyambe. Kyokka tayinza kubavumula, wadde okuwonya ebiwundu byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka Yalebu: naye tayinza kubawonya, so talibavumula ekiwundu kyammwe.