Hosea 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Efurayimu ndimubeerera ng'empologoma, Yuda, ng'omwana gw'empologoma. Nzija kutaagulataagula neetambulire; nzija kukwakkula ntwale, ate tewaliba awonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu, era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda. Ndibataagulataagula ne ŋŋenda; ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento, eri ennyumba ya Yuda; nze, nze mwene, nditaagulataagula ne nvaawo; ndibatwalira ddala so tewaliba wa kubawonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ndiba ng'empologoma, nnumbe Yisirayeli ne Buyudaaya. Nze mwene ndibataagulataagula ne nvaawo. Bwe ndiba nga mbawalabanya, tewaliba abawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento eri ennyumba ya Yuda: nze, nze mwene, nditaagula ne nvaawo; nditwalira ddala so tewaliba wa kuwonya.