Hosea 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nzija kweddirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe, ne banoonya amaaso gange; mu buyinike bwabwe balinnoonya buteddiza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiddayo mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe. Balinnoonya, mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndiddayo nate mu kifo kyange, okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange, era mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya nga bagamba nti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibaabulira, ne nzirayo gye mbeera, okutuusa lwe balikkiriza ensobi yaabwe ne bannoonya. Bwe balibonaabona, balifuba okunnoonya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndigenda ne nzirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange: mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikirira okunnoonya.