Hosea 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Basimye obunnya obuwanvu e Sittimu, bonna nzija kubabonereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abajeemu bamaliridde okutta, naye ndibabonereza bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mwafuuka obuya obwasimibwa e Sittimu. Naye ndibabonereza bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mwafuuka obuya obwasimibwa e Sittimu. Naye ndibabonereza mwenna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abajeemu bagenze nnyo wansi nga batta; naye nze ndi munenya w'abo bonna.