Hosea 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Efurayimu mmumanyi, ne Yisirayeli tankwekeddwa; Efurayimu, okoze obwamalaaya; Yisirayeli yeegwagwawazza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu, so ne Isirayiri tankisibwa. Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya, ne Isirayiri yeeyonoonye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa; kubanga kaakano, ayi Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiraeri ayonoonese.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi Yisirayeli nga bw'afaanana, tayinza kunkisibwa. Yisirayeli akoze eby'obutali bwesigwa era ayonoonese.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa: kubanga kaakano, ai Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiaeri ayonoonese.