Hosea 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaali beesigwa eri Omukama, kubanga baazaala abaana ab'ensonga; kale nno embaga zaabwe ez'Okuboneka kw'Omwezi zijja kubakavvula ko n'ennimiro zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebabadde beesigwa eri Mukama; bazadde abaana aboobwenzi. Embaga ez’omwezi ogwakaboneka kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana abatali babe; kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebabadde beesigwa eri Mukama, era bazadde abaana abatali babe. Kale kaakano bajja kuzikirizibwa mangu awamu n'ennimiro zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana ab'amakiro: kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe.