Hosea 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mufuuwe eŋŋombe mu Gibewa n'ekkondeere mu Rama, Mukube enduulu mu Beti-Aveni, mutiisetiise Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea, n’ekkondeere mu Laama. Muyimuse amaloboozi e Besaveni; mutukulembere mmwe Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama, mulaye eŋŋoma e Besaveni; mukankane ayi Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya, n'ekkondeere mu Raama! Mulaye eŋŋoma mu Betaveni, muyite Benyamiini mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama: mulaye eŋŋoma e Besaveni; nti Ennyuma wo, ai Benyamini.