Hosea 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'ekibonerezo Efurayimu alisigala matongo, mu bika bya Yisirayeli nnangirira ekikakafu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw’okubonerezebwa. Nnangirira ebiribaawo mu bika bya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okuweerwako ekibonerezo; wakati mu bika bya Isiraeri nnangirira ebikakafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli alisigala matongo ku lunaku olw'okuweerako ekibonerezo. Nnangirira mu bika bya Yisirayeli nti ebyo bigenda kutuukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okunenyezebwako: mmanyisizza mu bika bya Isiraeri ebyo ebitalirema kubaawo.