Hosea 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mujje tudde eri Omukama, ye yatuyuzaayuza era y'anaatuwonya; yatulumya, era y'anaatusiba ebiwundu byaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mujje tudde eri Mukama; kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya; ye yatufumita; era ye alitunyiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bagamba nti: “Mujje tudde eri Mukama, kubanga ye yatutaagulataagula, era ye alituwonya, ye yatufumita, era ye alitunyiga ebiwundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga.