Hosea 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku bbiri ajja kutuzzaamu obulamu; ku lunaku olwokusatu alitusitula tubeerewo mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku olwokusatu alituzza buggya, ne tubeera balamu mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lwe nnaku bbiri alituzaamu obulamu, ku lunaku olwokusatu alitusitula, tulyoke tubeera balamu mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku bbiri oba ssatu alituzzaamu obulamu ne tubeera balamu mu maaso ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw'okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge.