Hosea 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tumanye, tunyiikirire okumanya Omukama; ng'okusala kwa mmambya bwe kutalimba, n'okujja kwe kituufu bwe kuliba; alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba ya Ttoggo efukirira ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tumanye Mukama; tunyiikire okumumanya. Ng’enjuba bw’evaayo enkya, bw’atyo bw’alirabika; alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira, era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tusobozese okumanya, tusobozese okunyiikira okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkakakkalira ng'enkya; alijja gyetuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi bwefukirira ettaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tufube okumanya Mukama. Ajja kujja gye tuli awatali kubuusabuusa, ng'olunaku bwe lukya era ng'enkuba esooka mu mwaka bw'efukirira ettaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng'enkya: era alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.