Hosea 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nkukolere ki, Efurayimu? Nkukolere ki Yuda? Okwagala kwammwe kuli ng'olufu lw'oku makya, oba ng'omusulo ogukeera okuggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkukolere ki, Efulayimu? Nkukolere ki, Yuda? Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya, era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naakukola ntya, ayi Efulayimu? Naakukola ntya ayi Yuda? Okwagala kwo kuliŋŋaanga ekire eky'enkya, ng'omusulo oguggwaawo nga bukyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama agamba nti: “Yisirayeli ne Buyudaaya nnaabakola ntya mmwe? Kubanga okwagala kwe munjagalamu, kuggwaawo mangu ng'olufu lw'oku makya, era ng'omusulo oguggwaawo, nga bukyali nkya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Efulayimu, naakukola ntya? ai Yuda, naakukola ntya? kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky'enkya era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali.