Hosea 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'abatemu abateegeredde omuntu, n'ekikwanga kya bakabona bwe kiri, batemula abantu ku kkubo eriraga e Sekemu; nga bakola ekintu kya bugwenyufu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo, n’ebibiina bya bakabona bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu, ne bazza emisango egy’obuswavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe biteega omusajja, bw'ekityo n'ekibiina ekya bakabona bwe kyekuŋŋaanya awamu; batemulira abantu mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obutemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona bali ng'ekibinja ky'abanyazi abateega omuntu. Batemulira abantu mu kkubo erigenda a Sekemu. Ddala bakola ebiswaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe balindirira omusajja, ekibiina ekya bakabona bwe battira bwe batyo mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obukaba.