Hosea 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lwe mponya Yisirayeli, ebibi bya Efurayimu bye byeyoleka, n'ekyejo kya Samariya nga kirabika. Bali mu kulimba, ababbi bamenya amayumba, n'ebweru abanyazi babba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
na buli lwe nawonyanga Isirayiri, ebibi bya Efulayimu ne birabika, n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika. Balimba, bamenya ne bayingira mu mayumba, era batemu abateega abantu mu makubo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'ebikolwa ebibi ebya Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba, omubbi amenya n'ayingira, n'ekibiina eky'abanyazi banyaga ebweru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli lwe njagala okuwonya abantu bange Abayisirayeli, kye ndaba gye misango gye bazza, n'ebibi ab'omu Samariya bye bakola. Bakolera ku bulimba. Bayingira mu mayumba ne babba, era n'ebweru banyaga ku bantu ebintu mu makubo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'obubi bwa Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba: n'omubbi ayingira munda, n'ekibiina eky'abatemu banyagira e bweru.