Hosea 7:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwekuza kwa Yisirayeli kumulumiriza, naye tebadda eri Mukama Katonda waabwe, tebamunoonya olwa bino byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza, naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko tadda eri Mukama Katonda we newaakubadde okumunoonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era amalala ga Isiraeri ye mujulirwa gy'ali; era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, newakubadde ebyo byonna nga bimaze okubaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwekulumbaza kw'Abayisirayeli kwe kubalumiriza. Newaakubadde ebyo byonna bibaddewo, naye tebakomyeewo gye ndi nze Mukama, Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu maaso ge: era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo.