Hosea 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baligenda, ŋŋenda kubakasukirako ekitimba kyange; ndibawanulayo ng'ekinyonyi ky'omu bbanga, ndibavunaana olw'obwonoonefu bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba, era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga. Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baliba bagenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga, ndibakangavvula olw'ebikolwa byabwe ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli gye baddukira, nja kubatega ekitimba kyange, mbakwase ng'ebinyonyi. Nja kubabonereza olw'ebibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baligenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga: ndibakangavvula ng'ekkuŋŋaaniro lyabwe bwe baawuliranga.