Hosea 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Zibasanze, kubanga banvaako! Bazikirire, kubanga banjeemera. Nandibanunudde, naye bo bannimba bulimbi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze, kubanga bawabye ne banvaako. Baakuzikirira kubanga banjemedde. Njagala nnyo okubanunula, naye banjogerako eby’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze, kubanga bawabye okunvaako! okuzikirira kubatuukeko, kubanga banjemedde! nandibanunudde, naye banjogeddeko eby'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Zibasanze, kubanga bawabye ne banvaako. Ka bazikirire, kubanga banjeemedde. Nayagala okubanunula, naye banjogerako bya bulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze kubanga bawabye okunvaako; okuzikirira kubatuukeko! kubanga bansobezza: newakubadde nga njagala okubanunula, era naye banjogeddeko eby'obulimba.