Hosea 7:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebandaajanira nga kibava ku mitima, wabula bawolomera mu bitanda byabwe, beesalaasala olw'eŋŋano n'evviini ensu, naye ku nze bakyukira eri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebankaabira n’emitima gyabwe, wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe. Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini, naye ne banjeemera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebankaabira kuva mu mutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe, olw'eŋŋaano n'omwenge, ne banjeemera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebaneegayiridde mu mazima, naye beekulukuunya ku ttaka ne bakaaba. Bettanira ŋŋaano na mwenge, ne banjeemera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebankaabidde n'omutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe: bakuŋŋaanira eŋŋaano n'omwenge, banjeemera.