Hosea 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabagunjula, ne ŋŋumya emikono gyabwe, naye nze bandowooleza bibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi, naye bansalira enkwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga nnabayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde nga nze nabagunjula era ne mbawa amaanyi, naye era banneekobera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde nga nayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi.