Hosea 7:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebakyukira eri Ali Waggulu Ddala; bali ng'omutego gw'akasaale omukyamu; abakugu baabwe balifa kitala, olw'olwetumbu lw'olulimi lwabwe; kino kiribasekereza mu Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo; bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka; abakulembeze baabwe balifa kitala, olw’ebigambo byabwe ebya kalebule. Era kyebaliva babasekerera mu nsi y’e Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakyukira Baali; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'olulimi lwabwe oluvuma, olw'ekyo mulifuuka ekisekererwa mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Badda eri ebyo ebitali Katonda. Bali ng'omutego omukyamu oguteesigika. Abakungu baabwe balittibwa olw'okwogera nga beewaana. Era balisekererwa mu nsi y'e Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakomawo naye si eri oyo ali waggulu; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'okulaluka kw'olulimi lwabwe: kuno kwe kuliba okusekererwa kwabwe mu nsi y'e Misiri.