Hosea 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye tebalikirowoozaako nti nzijukira ebibi byabwe byonna. Ebyonoono byabwe bibeebunguludde, bulijjo biri mu maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebalowooza nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi. Ebibi byabwe bibazingizza, era mbiraba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tabalowooza nti njijukira emirimu gyabwe emibi, kaakano ebikolwa byabwe bo bibeetoolodde; era biri mu maaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebakirowoozaako nti mmanyi ebibi byabwe byonna, sso ng'ebikolwa byabwe bibeetoolodde, era nga babikola mbiraba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebalowooza mu mitima gyabwe nga nze njijukira obubi bwabwe bwonna: kaakano ebikolwa byabwe bo bibazingizizza; biri mu maaso gange.