Hosea 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna bali mu bwenzi, bali ng'akabiga akakume omuliro, omukuumi w'omuliro k'ateetaaga na kuseesamu okuva lw'agoya obutta okutuusa lwe buzimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna benzi; bali ng’ekyoto ekyaka omuliro, omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna benzi; baliŋŋaanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekeraawo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ba nkwe, era si beesigwa. Bali ng'akabiga akakumibwa omufumbi w'emigaati, akateetaaga kuseesaamu, okuva lw'amala okugoya obutta, okutuusa lwe buzimbulukuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna benzi; baliŋŋanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekera awo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka.