Hosea 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku lw'ekijaguzo kya kabaka waffe, abakungu bacamulwa omwenge, n'akwatagana n'abanyoomi emikono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga, abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza, kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku lwa kabaka waffe, abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge; yagolola omukono gwe wamu n'abanyomi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku kabaka lw'akola embaga, abanyoomi abo basiruwaza kabaka n'abakungu be, nga babatamiiza omwenge era nabo ne gubakwata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku lwa kabaka waffe abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge: yagolola omukono gwe wamu n'abanyoomi.