Hosea 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emitima gyabwe giri ng'akabiga nga bakola enkwe; Obusungu bwabwe bunyooka ekiro kyonna, ku makya ne bubuubuuka ng'ennimi z'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emitima gyabwe gyokerera nga oveni mu busungu bwabwe; Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna; mu makya ne bwaka ng’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okufaanana n'akabiga emitima gyabwe gibuubuuka n'ekiruyi; ekiro kyonna obusungu bwabwe bwaka, ku makya bubuubuuka ne bwaka ng'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala bengerera ng'akabiga nga bateesa okukola akabi. Obusungu bwabwe bwaka mpolampola ekiro kyonna, ku makya ne bubuubuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bategese omutima gwabwe ng'akabiga, nga bateega: obusungu bwabwe bwebaka ne bukeesa obudde; enkya bwaka ng'omuliro ogwaka.