Hosea 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagwira banyuunyunta amaanyi ge, naye ye tamanyi; envi zibamezeemezeeko, naye tamanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge naye takimanyi. Mu nviiri ze mulimu envi, naye takiraba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi, atobese envi, so tamanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne batamanya ng'okwetaba n'abagwira kubamalamu amaanyi, era ng'eggwanga lyabwe lizikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi: weewaawo, atobese envi, so tamanyi.