Hosea 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muteeke eŋŋombe ku mimwa. Anti empungu eri waggulu ku nnyumba y'Omukama, kubanga abantu bajeemedde endagaano yange; bamenye etteeka lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ffuwa ekkondeere. Empungu eri ku nnyumba ya Mukama kubanga abantu bamenye endagaano yange ne bajeemera amateeka gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teeka ekkondeere ku mumwa gwo, kubanga ensega eri waggulu ku nnyumba ya Mukama, kubanga bamenye endagaano yange, era bajeemedde amateeka gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mufuuwe eŋŋombe! Abalabe bajja ng'empungu okulumba ensi yange, kubanga abantu bange bamenye endagaano gye nakola nabo, era bajeemedde amateeka gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teeka ekkondeere ku mumwa gwo. Ng'empungu bw'atyo bw'ajja okulumba ennyumba ya Mukama: kubanga basobezza endagaano ne boonoona amateeka gange.