Hosea 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe baneetunda mu mawanga, nzija kubakuŋŋaanya; bajja kukogga olw'omugugu gwa kabaka omukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga beetunze eri amawanga, ndibakuŋŋaanya, era ndibawaayo eri okubonaabona nga banyigirizibwa kabaka ow’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, newakubadde nga bagulirira ababayambako mu mawanga, mangu nnyo nja kubakuŋŋaanya; era balisirikiriramu ekiseera okufuka amafuta ku ba kabaka n'abalangira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nja kubakuŋŋaanyiza wamu mbabonereze, era banaatera okukaaba, kabaka w'Abassiriya bw'anaabanyigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, newakubadde nga bagulirira mu mawanga, kaakano naabakuŋŋaanya; era batanudde okukendeera olw'omugugu gwa kabaka w'abalangira.