Hosea 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe nandimuwandiikidde amateeka gange ne genkana wa obungi, yandigatunuulidde ng'ekintu ekigwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange, naye ne babifuula ekintu ekigwira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga mmuwandiikira amateeka gange enkumi ne nkumi, bandigatutte nga amagwira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde mbawandiikira amateeka gange agatabalika olw'obungi, bagagaana ng'ekintu ekigwira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde nga muwandiikira amateeka gange mu biragiro kakumi, biyitibwa kintu kinnaggwanga.