Hosea 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bantambirira ebitambiro, ennyama ne bagirya, naye Omukama tabasanyukira. Kati ajja kujjukira ebyonoono byabwe: bagenda kuddayo mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bawaayo ebiweebwayo gye ndi, ne balya ennyama yaabyo, Mukama tabasanyukira. Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe n’ababonereza olw’ebibi byabwe: Baliddayo e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baagala ssaddaaka; bassaddaka ennyama era ne bagirya; naye Mukama tabasanyukira, kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe era n'ababonereza olw'ebibi byabwe; baliddayo mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banyumirwa okumpa ebitambiro. Batambira ensolo, ne balya ennyama ey'ebitambiro ebyo. Naye nze Mukama sibasanyukira, era kaakano, nja kujjukira ebibi byabwe mbabonereze olw'ebibi ebyo. Bajja kuddayo mu Misiri!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ssaddaaka ez'ebyange ebiweebwayo, bawaayo ennyama okuba ssaddaaka ne bagirya; naye Mukama tabakkiriza: kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe n'abonereza olw'ebibi byabwe; balidda mu Misiri.