Hosea 8:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yeerabidde Eyamukola, n'azimba embiri; ye Yuda ayongera bungi bwa bibuga okuli ebigo. Naye nzija kuteekera ebibuga bye omuliro, ogulisenkenya ebigo bye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri yeerabidde omutonzi we, n’azimba embiri, ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe; naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe, ne gwokya ebigo byabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, era azimbye embiri; Yuda azimbye ebibuga bingi ebiriko enkomera, naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abayisirayeli bazimbye amayumba, naye beerabidde eyabatonda. Ab'omu Buyudaaya bongedde okuzimba ebibuga ebiriko ebigo. Naye nja kusindika omuliro gwokye ebibuga byabwe n'ebigo byabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, n'azimba amayumba; era Yuda ayongedde ebibuga ebiriko enkomera: naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo.