Hosea 8:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bassaawo bakabaka nga tekivudde mu nze; balonda abaami nga simanyi; mu ffeeza waabwe ne zaabu bakolamu bifaananyi bya balubaale, ekinaabaleetera okuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balonda bakabaka nga sikkirizza, balonda abakulembeze be sikakasizza. Beekolera ebifaananyi ebyole mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baatekawo bakabaka naye nga tebayise mu nze; baalonda abakungu nga sitegedde. Mu ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe beekoledde ebifaananyi ebinaabaviirako okuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bataddewo bakabaka, naye nga tebakikola ku lwange. Balonze abakulembeze nga tebantegeezezza. Baddidde ffeeza ne zaabu waabwe ne bakola ebifaananyi ebinaabaviirako okuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bataddewo bakabaka naye si ku bwange; balonze abakungu nange nga sikimanyi; beekoledde ebifaananyi ne ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe balyoke bamalibwewo.