Hosea 8:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwattu Samariya, akayana ko kakasuke eri; obusungu bwange bubeesererako. Banaatuusa wa okwejaajaamya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kanyuga ebweru ekifaananyi ky’ennyana yo, ggwe Samaliya. Obusungu bwange bubabuubuukirako. Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ŋŋaanyi ennyana yo, ayi Samaliya; obusungu bwange bubabuubuukirako, kinaatwala bbanga ki bonna okuba abalongoofu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkyawa ente ennume eya zaabu, ab'omu Samariya gye basinza. Mbasunguwalidde. Balikoma ddi okwonoona?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asudde ennyana yo, ai Samaliya; obusungu bwange bubaakiddeko: ebiro biryenkana wa okutuusa lwe baliba n'obutayonoona?