Hosea 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga baasiga mpewo, balikungula muyaga; ku kati tekuli kirimba, tekuliva buwunga; kaba kuteekako ŋŋano, abagwira bandigimize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Basiga empewo, ne bakungula embuyaga. Ekikolo olw’obutaba na mutwe, kyekiriva kirema okubala ensigo. Naye ne bwe kyandibaze, bannaggwanga bandigiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga basiga mbuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu. Eŋŋaano eyimiridde terina birimba, kale teyinza kubala mmere; singa yali yakubala, bannamawanga bandigiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baasiga mpewo, balikungula mbuyaga. Eŋŋaano etebaze, tevaamu mmere. Ne bw'eriba ebaze, ab'amawanga amalala baligirya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga basiga embuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu: talina ŋŋaano emera; ekiti tekiribala mmere; n'okubala bwe kiriba kibaze, bannaggwanga baligiriira ddala.