Hosea 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bambuse mu Assuri, bali ng'endogoyi ey'ettale eri yokka; ye Efurayimu yeetunze mu baganzi be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bambuse ne bagenda eri Obwasuli, ng’endogoyi ey’omu nsiko eri yokka. Efulayimu aguliridde abaganzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bambuse eri Obwasuli, ng'entulege etambulatambula yokka; Efulayimu aguliridde baganzi be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Abayisirayeli bagenze mu Assiriya okusaba obuyambi. Bali ng'entulege eyeewaggula, etambula yokka. Baguliridde ab'amawanga amalala okubakuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bambuse eri Obwasuli ng'entulege eri emu yokka: Efulayimu aguliridde abaganzi.