Hosea 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli, tosanyuka; tosagambiza nga mawanga malala, kubanga olese awo Katonda wo n'okola obwamalaaya; osiimye empeera y'obwamalaaya ku buli gguuliro lya ŋŋano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tosanyuka ggwe Isirayiri; tojaguza ng’amawanga amalala, kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo, weegomba empeera eya malaaya ku buli gguuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tosanyuka, ayi Isiraeri! Temusanyuka ng'abantu abalala; kubanga oyenze n'okuva ku Katonda wo, oyagadde empeera y'omwenzi ku buli gguuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli muleme kusanyuka ng'ab'amawanga amalala, kubanga mweggye ku Katonda wammwe, ne mutaba beesigwa gy'ali. Mwetunze nga bamalaaya eri lubaale Baali, era mwagadde eŋŋaano ku buli gguuliro, nga gye mubala nti ye mpeera gy'abasasudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tosanyuka, ai Isiraeri, n'essanyu ng'amawanga; kubanga ogenze ng'oyenda okuva ku Katonda wo, weegomba empeera ku buli gguuliro.