Hosea 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwe nasanga Yisirayeli, kwali ng'okusanga emizabbibu mu ddungu; lwe nalaba bajjajjammwe, kwali ng'okulaba entontogolo z'omukunyu ezisooka; naye bwe bajja ewa Baali ku Pewori, beewonga eri eky'obuswavu, ne bafuuka kyenyinyalwa nga kiri kye baayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
We nasangira Isirayiri, kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu. Bwe nalaba bajjajjammwe, kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini. Naye bwe bajja e Baalipyoli, beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi, ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga emizabbibu mu ddungu, bwe n'asanga Isiraeri, ng'ebibala ebisooka okwengera ku mutiini, mu mwaka gwagwo ogwolubereberye, bwe nnalaba bajjajjammwe. Naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira Baali, ne bafuuka eky'omuzizo ng'ekyo kye baayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nasanga Yisirayeli, ng'asanga emizabbibu egikulira mu ddungu. Nalaba bajjajjammwe, ng'alaba ebibala by'omutiini ebisooka okwengera mu mwaka. Naye bwe baatuuka ku Lusozi Pewori, ne batandika okusinza Baali, ne bafuuka ekyenyinyalwa, nga balubaale be baayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nasanga Isiraeri ng'ezabbibu mu ddungu; nalaba bajjajjammwe ng'esooka okwengera ku mutiini mu mwaka gwagwo ogw'olubereberye: naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira ekyo ekikwasa ensonyi, ne bafuuka ab'emizizo ng'ekyo kye bayagala.