Hosea 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitiibwa kya Efurayimu kibuuka ne kigenda ng'ekinyonyi, teriba kuzaalibwa, oba okuba olubuto yadde okulufuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ng'ekinnyonyi; tewaliba kuzaala, newakubadde okubeera olubuto, wadde okufuna olubuto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitiibwa kya Yisirayeli kiribuuka mu bbanga, ne kigenda ng'ekinyonyi: tewaliba baana bazaalibwa, wadde abakazi abali embuto, wadde abazifuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu ekitiibwa kyabwe kiribuuka; kirigenda ng'ennyonyi: tewaliba kuzaala newakubadde ali olubuto newakubadde eggwako.