Hosea 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bwe balikuza abaana baabwe, bonna ndibabamalako; Ziribasanga nga mbavuddeko!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe balikuza abaana baabwe, ndibabaggyako bonna. Ziribasanga bwe ndibavaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde nga baliba balera abaana baabwe, era naye ndibabaggyako, ne batasigazaawo mulamu n'omu, weewaawo, ziribasanga bwe ndibavaako!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne bwe balizaala abaana, era ndibabaggyako, ne batasigazaawo mulamu. Abantu bano bwe ndibavaako, ziribasanga!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Newakubadde nga balera abaana baabwe; era naye ndibafiisiza, ne wataba muntu asigaddewo: weewaawo, era ziribasanga bwe ndibavaako.