Hosea 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efurayimu yanfaananira nga Tiiro, ekisimbiddwa mu kalimiro, naye Efurayimu alireeta abaana be eri asanjaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalaba Efulayimu ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali. Naye Efulayimu alifulumya abaana be ne battibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Efulayimu, nga bwendaba, baategekeddwa okuliibwa; Efulayimu ateekeddwa okukulembera abaana be bagende battibwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndaba abaana ba Yisirayeli nga bayiggibwa ne battibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu asimbibwa mu kifo eky'okwesiima, nga bwe nnalaba Ttuulo: naye Efulayimu alifulumya abaana be eri omussi.