Hosea 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, bawe. Naye onoobawa ki? Bawe embuto ezivaamu n'amabeere amakalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bawe Ayi Mukama Katonda. Olibawa ki? Leetera embuto zaabwe okuvaamu obawe n’amabeere amakalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bawe ayi Mukama, olibawa ki? Bawe olubuto oluvaamu n'amabeere agataliimu mata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, kiki kye mba nkusaba okolere abantu bano? Leka bakazi baabwe baveemu embuto, era okaze amabeere gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bawe, ai Mukama: oliwa ki? bawe olubuto olutaasa n'amabeere amakalu.