Hosea 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olw'ebibi byabwe byonna mu Gilugali, eyo nabakyayirayo; olw'ebikolwa byabwe ebibi, nzija kubagoba mu nnyumba yange. Siriddayo kubaagala, byonna bye bakola bya bujeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali, kyennava mbakyayira eyo. Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu, kyendiva mbagoba mu nnyumba yange. Siribaagala nate; abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli bubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; eyo gye natandikira okubakyawa. Olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange, siribaagala nate, abakungu baabwe bonna bajeemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Baatandikira Gilugaali okukola ebibi. Eyo gye natandikira okubakyawa. Ndibagoba mu nsi yange olw'ebibi bye bakoze. Siriddayo kubaagala. Abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; kubanga eyo gye nnabakyayira: olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange: siribaagala nate; abakungu baabwe bonna bajeemu.