Hosea 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efurayimu yababuka, ekikolo kyabwe kyakala, tebaabala bibala; ne bwe balizaala abaana, nditta ezzadde lyabwe eribeeyagaza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu balwadde, emirandira gyabwe gikaze, tebakyabala bibala. Ne bwe balizaala abaana baabwe, nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala, weewaawo, newakubadde nga bazaala, era naye nditta abaana baabwe abaagalwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bali ng'omuti ogutemeddwa ne gukala emirandira, ogutakyabala bibala. Tebalizaala baana. Naye ne bwe balizaala, nditta abaana baabwe abaagalwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala: weewaawo newakubadde nga bazaala, era naye nditta ekibala eky'olubuto lwabwe ekyagalwa.