Hosea 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaliyiira Mukama kitambiro kya vviini, n'ebitambiro byabwe tebirimusanyusa; biribafuukira ng'emmere y'abakungubaga, bonna abagirya balyejaajaamya; emmere eyo erikoma ku bo bokka, teriyingira mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama, so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa. Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi, ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu. Emmere eyo eriba yaabwe bo, so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama; era tebalimusanyusa ne ssaddaaka zaabwe. Emigaati gyabwe giriba nga emigaati gy'abakungubazi, bonna abanaagiryangako banaabanga abatali balongoofu; kubanga emigaati gyabwe ginaabanga gya kuwonya njala yaabwe kyokka; tegitwalibwenga mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi ezo engwira, tebaasobolenga kutona mwenge eri Mukama, wadde okuleeta ebitambiro byabwe gy'ali. Emmere gye banaalyangako, eneebafuulanga abatali balongoofu, ng'emmere eriirwa awali omufu. Banaagiryanga kukkuta bukkusi, teetwalibwengako kuweebwayo ng'ekirabo mu Ssinzizo lya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama, so talibasanyukira: ssaddaaka zaabwe ziriba gye bali ng'emmere y'abakungubazi; bonna abanaagiryangako baliba boonoonese: kubanga emmere yaabwe eriba ya kukkutibwa bukkutibwa; teriyingira mu nnyumba ya Mukama.