Hosea 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baabo badduka okuzikirira, Misiri eribakuŋŋaanya, Memfi n'abaziika; kamyu alyefuga eby'obugagga byabwe ebya ffeeza n'amatovu galimera mu weema zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bwe baliwona okuzikirira, Misiri alibakuŋŋaanya, ne Menfisi alibaziika. Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika, n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, bagenda mu Bwasuli; Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika. Omwennyango gulyemala ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa, n'amaggwa galibeera mu n'eweema zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuzikirira bwe kulituuka, abantu ne basaasaana, Abamisiri balibakuŋŋaanya, ne baziikibwa abatuuze b'e Ninfiisi. Ebyobugagga byabwe ebya ffeeza ebisanyusa, n'eweema zaabwe, birimeramu omuddo n'amaggwa ne bizika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, bagenze okuva awali okuzikirira, era naye Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika: ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa emyennyango giribyemala: amaggwa galiba mu weema zaabwe.